Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
40 (A)Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2 “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4 (B)“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5 (C)Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6 (D)Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7 (E)“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
Ka nkubuuze,
naawe onziremu.
8 (F)“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9 (G)Olina omukono ng’ogwa Katonda,
eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 (H)Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 (I)Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 (J)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13 Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 (K)Nange kennyini ndyoke nzikirize,
ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
Amaanyi g’envubu
15 “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
kye natonda nga ggwe,
erya omuddo ng’ente,
16 nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17 Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18 Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 (L)Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 (M)Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21 Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 (N)Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23 Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 (O)Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”
6 (A)Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. 2 (B)Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. 3 (C)Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.
4 (D)Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 5 ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, 6 (E)naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.
7 Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. 8 (F)Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.
9 (G)Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 10 (H)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 11 (I)Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 12 (J)Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.