Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 75

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(D)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Yobu 41:12-34

12 “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,
    amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
13 Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?
    Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
14 Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?
    Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15 Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo
    ezisibiddwa okumukumu.
16 Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
17     Zakwatagana,
    ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 (A)Bw’eyasimula, ebimyanso bijja,
    n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.
    Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka
    ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
21 (B)Omukka oguva mu nnyindo zaayo
    gukoleeza Amanda.
22 Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,
    n’entiisa eri mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;
    gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
24 Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,
    kigumu ng’olubengo.
25 Bwesituka ab’amaanyi batya.
    Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26 Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,
    oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
27 Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,
    ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa,
    amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
29 Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.
    Esekerera amafumu agakasukibwa.
30 (C)Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.
    Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
31 Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.
    Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
32 Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;
    ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
33 (D)Tewali kigyenkana ku nsi;
    ekitonde ekitatya.
34 (E)Enyooma buli kisolo.
    Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”

Yokaana 13:1-17

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. (B)Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, (C)n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

(D)Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

10 (E)Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13 (F)Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 (G)Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15 (H)Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16 (I)Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17 (J)Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.