Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 (A)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (B)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (C)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (D)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (E)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Omwagalwa
2 (A)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3 Nziggyeko ekkooti yange,
nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4 Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
omutima gwange ne gubuukabuuka.
5 (B)Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
ku minyolo gy’ekufulu.
6 (C)Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
naye muganzi wange ng’avuddewo,
yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7 (D)Abakuumi baansanga
bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
ne batwala n’ekyambalo kyange,
abasajja abo abakuuma bbugwe.
8 (E)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
gy’ali bwe kunzita.
Abemikwano
9 (F)Owange, kiki muganzi wo ky’alina
kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
Omwagalwa
10 (G)Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
atabula ne mu bantu omutwalo.
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
n’enviiri ze zirimu amayengo,
era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 (H)Amaaso ge gali ng’amayiba
ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 (I)Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
agakulukuta mooli.
14 (J)Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 (K)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
omulungi ng’emivule gyayo.
16 (L)Enjogera ye mpomerevu,
weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Abemikwano
6 (M)Muganzi wo alaze wa,
ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
tumukunoonyezeeko?
Omwagalwa
19 (A)Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. 20 (B)Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi. 21 (C)Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22 (D)“Kristo teyakola kibi
wadde okwogera ebyobukuusa.”
23 Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. 24 (E)Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa. 25 Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.