Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 73:21-28

21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
    n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (A)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
    ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
    gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (B)Mu kuteesa kwo onkulembera,
    era olintuusa mu kitiibwa.
25 (C)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
    Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (D)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
    naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
    era ye wange ennaku zonna.

27 (E)Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
    kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 (F)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Engero 25

Engero Endala Eza Sulemaani

25 (A)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

(B)Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
    naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
    bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

Effeeza giggyeemu ebisejja,
    olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
(C)Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
    entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
    wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
(D)Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
    kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.

(E)Amaaso go bye galabye
    tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
    munno bw’anaakuswaza?

Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
    tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza;
    n’onyoomebwa ebbanga lyonna.

11 (F)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
    kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12 (G)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
    bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

13 (H)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
    bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
    aweweeza emmeeme ya bakama be.

14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
    omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Muliraanwa n’Omulabe

15 (I)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
    n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

16 (J)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
    si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
    si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.

18 (K)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
    ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19 Okwesiga omuntu ateesigika,
    kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
    era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
    bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
    bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (L)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
    era Mukama alikuwa empeera.

23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
    n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

24 (M)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
    kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.

25 (N)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
    bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.

26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
    bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.

27 (O)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
    bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28 Omuntu ateefuga
    ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

Abakkolosaayi 3:1-11

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

(D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.