Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (A)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
Nnabagereka Vasuti Aggyibwa ku Bukulu
1 (A)Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. 2 (B)Mu kiseera ekyo Kabaka Akaswero we yafugira mu lubiri e Susani,[a] 3 (C)mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abakungu n’abaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, n’abalangira n’abakungu b’amasaza bonna baagiriko.
4 Yayolesa obugagga n’ekitiibwa n’ettendo eby’obwakabaka bwe okumala emyezi mukaaga. 5 (D)Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka n’agabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu. 6 (E)Oluggya lwalimu entimbe ez’engoye enjeru n’eza bbululu, nga zisibiddwa n’emiguwa egya linena omulungi n’olugoye olwa kakobe nga lusibiddwa n’empeta eza ffeeza ku mpagi ez’amayinja aganyirira. Waaliwo n’ebitanda[b] ebya zaabu n’effeeza ku lubalaza olwaliire n’amayinja aganyirira, amamyufu, n’ameeru, n’aga kyenvu n’amaddugavu. 7 (F)Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala. 8 Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bw’ayagala.”
9 (G)Ne Nnabagereka Vasuti naye n’agabula abakyala embaga mu lubiri lwa Kabaka Akaswero.
10 (H)Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi, 11 (I)okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala. 12 (J)Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka. 13 (K)Naye Kabaka yalina empisa ey’okwebuuzanga ku bakugu mu by’amateeka, era n’ateesa n’abasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo. 14 (L)Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere.
15 Awo Kabaka n’ababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olw’obutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?” 16 Memukani n’addamu Kabaka n’abakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye n’eri abakungu n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna Kabaka Akaswero by’afuga. 17 Era olw’enneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gy’ali, n’ajeema.’ 18 (M)Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri y’emu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu n’obutabanguko tebuggwengawo mu maka. 19 (N)Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga. 20 Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.”
21 Ekigambo ekyo kyasanyusa nnyo Kabaka n’abakungu be, era Kabaka n’akola ng’ekiteeso kya Memukani bwe kyali.
13 (A)Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 (B)Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 (C)Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18 (D)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (E)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
21 (F)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
Okusaba kw’Abakkiriza
23 Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. 24 Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, 25 (G)ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:
“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 (H)Bakabaka b’ensi
n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
n’okulwanyisa Kristo we.’
27 (I)Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 28 (J)ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. 29 (K)Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, 30 (L)golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
31 (M)Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.