Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Eseza 4

Moluddekaayi Akkirizisa Eseza Okuyamba Abayudaaya

(A)Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeesiiga evvu, n’afuluma n’agenda mu kibuga wakati, n’akaaba n’eddoboozi ddene olw’ennaku ennyingi: (B)naye n’akoma ku wankaaki wa kabaka, kubanga tewali eyakirizibwanga okuyingira mu mulyango gwa Kabaka ng’ayambadde ebibukutu. Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi n’okusiiba n’okukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.[a]

Awo abaweereza ba Eseza abakazi n’abalaawe be ne bajja gyali okumutegeeza ku bibadde wo, era Nnabagereka n’anakuwala nnyo: n’aweereza Moluddekaayi ebyambalo yeyambulemu ebibukutu bye yali ayambadde naye Moluddekaayi n’atabikkiriza. Eseza n’atumya Kasaki omu ku balaawe ba Kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza n’amukuutira okugenda okumanya ekizibu ekyali kituuse ku Moluddekaayi era n’ensonga.

Awo Kasaki n’afuluma n’agenda ebweru mu kifo ekigazi eky’ekibuga ekyayolekera omulyango gwa Kabaka, Moluddekaayi gye yali. (C)Moluddekaayi n’amutegeeza byonna ebyamutuukako, n’omuwendo gw’ensimbi Kamani gwe yali asuubizza okuteeka mu ggwanika lya Kabaka olw’okuzikiriza Abayudaaya. Era n’amuwa n’ebyaggyibwa mu kiwandiiko eky’etteeka eryalaalikibwa mu Susani, okuliraga Eseza n’okulimunnyonnyola ate era n’okukuutira Eseza okugenda amwegayiririre ye n’abantu be eri Kabaka. Amangwago Kasaki n’agenda n’abuulira Eseza ebigambo Moluddekaayi bye yali amutegeezezza. 10 Awo Eseza n’alagira Kasaki okuzzaayo obubaka ewa Moluddekaayi nti, 11 (D)“Abakungu ba kabaka bonna n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna eby’obwakabaka bakimanyi nti tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olw’omunda ng’atayitiddwa kabaka. Era waliwo n’etteeka nti akolanga bw’atyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, n’aba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”

12 Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku Moluddekaayi, 13 Moluddekaayi n’amuddamu nti, “Tolowooza nti olw’okuba oli mu lubiri lwa Kabaka, gwe onowonawo wekka mu Bayudaaya bonna. 14 (E)Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”

15 Awo Eseza n’aweereza obubaka eri Moluddekaayi nti, 16 (F)“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana n’ekiro okumala ennaku ssatu. Nze n’abaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba ow’okuzikirira, nzikirira.”

17 Amangwago Moluddekaayi n’agenda, era n’akola byonna Eseza bye yamulagira.

1 Peetero 1:3-9

Essuubi Eddamu

(A)Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. (B)Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. (C)Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. (D)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. (E)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. (F)Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, (G)era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.