Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO I
Zabbuli 1–41
1 (A)Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 (B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 (C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 (D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 (E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 (F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
Ebigambo ba Aguli
30 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:
Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2 Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
sirina kutegeera kwa bantu.
3 (A)Siyize magezi,
so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 (B)Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
Mbulira obanga obimanyi.
5 (C)Buli kigambo kya Katonda kya mazima,
era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 (D)Toyongeranga ku bigambo bye,
alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.
7 Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,
tobinnyimanga nga sinnafa:
8 (E)Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 (F)Nneme okukkutanga ne nkwegaana
ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10 Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,
alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
2 (A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. 2 (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. 3 (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. 4 (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, 5 (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.