Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
21 Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
era agukyusiza gy’ayagala yonna.
2 (A)Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
naye Mukama apima omutima.
3 (B)Okukola ebituufu n’eby’amazima
kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 (C)Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,
ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.
5 (D)Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,
naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
6 (E)Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,
mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.
7 Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,
kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
8 (F)Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu,
naye ery’abataliiko musango liba golokofu.
9 (G)Okusula ku kasolya k’ennyumba,
kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
10 Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
11 (H)Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
12 (I)Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
13 (J)Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
naye alikoowoola nga talina amwanukula.
14 (K)Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
15 (L)Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
16 (M)Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
agukira mu bafu.
17 (N)Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo
ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
Yesu Abuuzibwa gy’aggya Obuyinza
23 (A)Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”
24 Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’ 26 (B)Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”
27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
Olugero olw’Abaana Ababiri
28 (C)“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.
30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
31 (D)“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”
Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 (E)Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.