Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
32 (A)Kale nno, batabani bange mumpulirize;
balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,
so temugalekanga.
34 (B)Alina omukisa omuntu ampuliriza,
alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange
buli lunaku.
35 (C)Kubanga buli andaba afuna obulamu,
era afuna okuganja eri Mukama.
36 (D)Oyo atannoonya yeerumya yekka,
era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.
Empagi z’Amagezi Omusanvu
9 (E)Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2 (F)Gategese ennyama yaago ne wayini[a] waago;
gategese ekijjulo.
3 (G)Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
mu bifo ebigulumivu nti,
4 (H)“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5 (I)“Mujje mulye ku mmere yange
era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6 (J)Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
29 (A)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
30 (B)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 (C)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.
32 (D)Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 33 (E)abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 34 (F)be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 35 (G)Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 36 (H)N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 37 (I)Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38 n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 39 (J)Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40 Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.
Katonda akangavvula abaana be
12 (K)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (L)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.