Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 31:10-31

Omukazi ow’Amagezi

10 (A)Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
    Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 (B)Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
    era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
    obulamu bwe bwonna.
13 (C)Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
    n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
    aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15 Agolokoka tebunnakya,
    n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
    n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;
    asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
    emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
    era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
    engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 (D)Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
    n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
    kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
    era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.[a]
23 (E)Bba amanyibbwa,
    y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
    n’aguza abasuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
    era tatya ebiro ebigenda okujja.
26 (F)Ayogera n’amagezi,
    era ayigiriza ebyekisa.
27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
    era talya mmere ya bugayaavu.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
    ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
    naye bonna ggwe obasinga.”
30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
    naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31 (G)Mumusasule empeera gy’akoleredde,
    n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.

Zabbuli 1

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

Yakobo 3:13-4:3

Amagezi agava mu ggulu

13 (A)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (B)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (C)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

17 (D)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (E)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Mweweeyo eri Katonda

(F)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (G)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

Yakobo 4:7-8

(A)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (B)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.

Makko 9:30-37

30 Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya. 31 (A)Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 32 (B)Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.

33 (C)Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 34 (D)Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!

35 (E)Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.” 36 (F)N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, 37 (G)“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.