Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Yobu 2:11-3:26

Mikwano gya Yobu Abasatu

11 (A)Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi[a] Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. 12 (B)Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 13 (C)Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.

Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa

Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. N’agamba nti,

(D)“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
    n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
    omusana guleme okulwakako,
    Katonda aleme okulufaako.
(E)Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
    ekire kirutuuleko,
    ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
(F)Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
    luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
    wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
Yee, lubeere lugumba,
    waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
(G)Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
    n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
(H)Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
    lulindirire ekitangaala kirubulwe,
    luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
    nneme okulaba obuyinike.

11 (I)“Lwaki saafa nga nzalibwa,
    oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 (J)Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
    era n’amabeere okugayonka?
13 (K)Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
    nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 (L)wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
    abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 (M)oba n’abalangira abaalina zaabu,
    abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 (N)Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
    atalabye ku kitangaala?
17 (O)Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
    era n’abakooye gye bawummulira.
18 (P)Abasibe gye bawummulira awamu,
    gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera;
    abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.

20 (Q)“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
    ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 (R)era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
    n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde,
    ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 (S)Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
    atayinza kulaba kkubo,
    Katonda gw’akomedde?
24 (T)Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
    n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 (U)Ekintu kye nantiiranga ddala
    era kye nakyawa kye kyantukako.
26 (V)Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
    wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”

Abaggalatiya 3:23-29

23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.

Baana ba Katonda

26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.