Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 55:1-15

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(E)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (K)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

Yobu 11

Zofali Ayogera

11 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,

(A)“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
    Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
(B)Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
    Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
(C)Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
    era ndi mutukuvu mu maaso go.’
Naye, singa Katonda ayogera,
    singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
(D)n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
    kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
    Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.

(E)“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
    Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
(F)Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
    Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
Obuwanvu bwabyo businga ensi
    era bugazi okusinga ennyanja.

10 (G)“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
    ani ayinza okumuwakanya?
11 (H)Mazima ddala amanya abantu abalimba.
    Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
    ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.

13 (I)“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
    n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 (J)singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
    n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 (K)olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
    era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 (L)Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
    olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 (M)Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
    n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 (N)Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
    olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 (O)Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
    era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 (P)Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
    era tebalisobola kuwona,
    essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”

1 Abakkolinso 7:10-16

10 (A)Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. 11 Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

12 (B)Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga. 13 Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ng’amwagala, tamuvangako. 14 (C)Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu. 15 (D)Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe. 16 (E)Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.