Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
7 (A)Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. 8 (B)Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” 9 Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.
Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso mu Besusayida
22 (A)Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko. 23 (B)Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, “Kaakano waliwo ky’olaba?”
24 Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula.”
25 Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi. 26 Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, “Toddayo mu kyalo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.