Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
Obusirusiru bwa Keezeekiya
12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”
15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”
N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”
16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17 (A)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18 (B)“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”
19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
Kabona Merukizeddeeki
7 (A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. 2 Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. 3 (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.
4 (C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. 5 (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. 6 (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. 7 Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. 8 (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. 9 Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.