Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
Eriku Ayogera
32 (A)Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. 2 (B)Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. 3 Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. 4 Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. 5 Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
6 (C)Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,
“Nze ndi muto mu myaka,
mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
okubabuulira kye ndowooza.
7 Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
8 (D)Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
9 (E)Abakadde si be bokka abalina amagezi,
wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.
10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
nange mbabuulire kye mmanyi.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12 Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 (F)Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
ebigambo bibaweddeko.
16 Kaakano nsirike busirisi,
nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17 Nange nnina eky’okwogera,
era nnaayogera kye mmanyi,
18 kubanga nzijjudde ebigambo,
era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 (G)Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
Omugagga ne Laazaalo
19 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava. 20 (B)Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga. 21 (C)Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.
22 “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa. 23 Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. 24 (D)N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’
25 (E)“Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. 26 Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’
27 “Awo nnaggagga n’ayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, 28 (F)kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ 29 (G)Naye Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’
30 (H)“Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’
31 “Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.