Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 104:1-9

104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(D)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

Zabbuli 104:24

24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.

Zabbuli 104:35

35 (A)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Yobu 36:1-16

36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
    nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
(A)Amagezi ge nnina gava wala,
    era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
(B)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
    oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

(C)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
    w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
(D)Talamya bakozi ba bibi,
    era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
(E)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
    abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
    n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
(F)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
    nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
(G)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
    nti, beewaggudde,
10 (H)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
    n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (I)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
    ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
    era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (J)Naye bwe batamugondera,
    baalizikirizibwa n’ekitala,
    bafe nga tebalina magezi.

13 (K)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
    Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (L)Bafiira mu buvubuka bwabwe
    era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
    n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 (M)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
    akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
    omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.

Abaruumi 15:7-13

(A)Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. (B)Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe (C)n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,
    era ne ntendereza erinnya lyo.”

10 (D)Era n’ayongera n’agamba nti:

“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”

11 (E)Era nate nti,

“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,
    era abantu bonna bamutenderezenga.”

12 (F)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,

“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
    era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”

13 (G)Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.