Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako
2 (A)Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. 2 Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”
3 (B)Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”
4 Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; 5 (C)naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”
6 (D)Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”
7 (E)Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. 8 (F)Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.
9 Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”
10 (G)Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”
Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Omwana mukulu okusinga bamalayika
1 (A)Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; 2 (B)naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. 3 (C)Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (D)Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 6 (A)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 (B)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”
Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 9 (C)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
10 (D)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 (E)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (F)Agamba nti,
“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
2 (A)Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”
3 Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” 4 (B)Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”
5 (C)Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6 (D)Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. 7 Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. 8 (E)Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. 9 Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 11 (F)Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 12 (G)N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”
Yesu Awa Abaana Omukisa
13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14 (H)Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15 (I)Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 16 (J)Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.