Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Erifaazi Ayogera
4 Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (A)“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3 (B)Laba, wayigiriza bangi,
emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4 (C)Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5 (D)Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6 (E)Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?
7 (F)“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8 (G)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
9 (H)Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
bamalibwawo obusungu bwe.
10 (I)Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 (J)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
n’obwana bw’empologoma busaasaana.
12 (K)“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
ne nkitegera okutu.
13 (L)Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 (M)okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera,
naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 (N)‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 (O)Obanga abaddu be tabeesiga,
nga bamalayika be abalanga ensobi
19 (P)kale kiriba kitya,
abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 (Q)Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 (R)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
Obulamu Obuva mu Mwoyo
8 (A)Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. 2 (B)Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. 3 (C)Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri. 4 (D)Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.
5 (E)Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. 6 (F)Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe. 7 (G)Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. 8 N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.
9 (H)Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. 10 (I)Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu. 11 (J)Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.