Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
Birudaadi Ayanukula
18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2 “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 (A)Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 (B)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5 (C)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 (D)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 (E)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9 Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (F)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (G)Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (H)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (I)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (J)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (K)Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (L)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 (M)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 (N)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (O)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (P)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda
4 (A)Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. 2 (B)Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. 3 (C)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,
“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. 4 (D)Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” 5 (E)Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6 (F)Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. 7 (G)Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Temukakanyaza mitima gyammwe.
8 (H)Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” 9 Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 10 (I)Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 11 (J)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.