Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 (B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3 (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 (D)Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 (E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6 (F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
35 (A)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
39 (A)“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
2 Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
Omanyi obudde mwe zizaalira?
3 Zikutama ne zizaala abaana baazo,
ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
4 Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
batambula ne bagenda obutadda.
5 (B)“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
6 (C)gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
7 (D)Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
8 Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.
9 (E)“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10 Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11 Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12 Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?
13 “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14 Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15 ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 (F)Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 (G)Kubanga Katonda teyagiwa magezi
wadde okutegeera.
18 Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.
19 “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 (H)Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 (I)Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22 Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23 Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 (J)Mu busungu obungi emira ettaka,
tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 (K)Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,
n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.
26 “Amagezi go ge gabuusa kamunye,
n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 (L)Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28 Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 (M)Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 (N)Obwana bwayo bunywa omusaayi,
era awali emirambo w’ebeera.”
Empaka ku Bukulu
24 (A)Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25 Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 26 (B)Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 27 (C)Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28 Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 29 (D)era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 30 (E)okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.