Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Nawomi ne Luusi
1 (A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 2 (B)Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi[a] ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.
3 Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4 (C)Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5 Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.
6 (D)Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. 7 Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8 (E)Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina[b], era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 9 (F)Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10 nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” 11 (G)Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe[c]. 12 Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 13 (H)mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
14 (I)Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
15 (J)Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16 (K)Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17 (L)Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 18 (M)Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.
146 (A)Tendereza Mukama!
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 (B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 (C)Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 (D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 (E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 (F)eyakola eggulu n’ensi
n’ennyanja ne byonna ebirimu,
era omwesigwa emirembe gyonna.
7 (G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
8 (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
9 (I)Mukama alabirira bannamawanga,
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.
Mutendereze Mukama!
Omusaayi gwa Kristo
11 (A)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (B)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (C)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (D)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?
Etteeka Ekkulu
28 (A)Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”
29 Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 30 (B)Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 31 (C)N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”
32 (D)Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. 33 (E)Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”
34 (F)Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.