Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
55 (A)Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” 56 Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.” 57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 58 (B)Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”
Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi
18 (C)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. 2 Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. 3 (D)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. 4 (E)Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.
5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.
Ekkondeere ery’Omusanvu
15 (A)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,
“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
bwa Mukama waffe ne Kristo we,
era anaafuganga emirembe n’emirembe.”
16 (B)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (C)nga bagamba nti,
“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
Era ofuga.
18 (D)Amawanga gaakunyiigira,
naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo
era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,
n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,
n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo
abakulu n’abato,
n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
19 (E)Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.