Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 2:1-10

Okusaba kwa Kaana

(A)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,

“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
    amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
    kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”

(B)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
    tewali mulala wabula ggwe;
    tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

(C)Toyogera nate nga weewaanawaana
    wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
    era y’apima ebikolwa.

(D)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
    naye abanafu baweereddwa amaanyi.
(E)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
    naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
    n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.

(F)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
    atwala emagombe ate n’azuukiza.
(G)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
    atoowaza ate n’agulumiza.
(H)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
    asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
    Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.

(I)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
    naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10     (J)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
    Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
    era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.

1 Samwiri 2:18-21

18 (A)Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 19 (B)Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 20 (C)Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 21 (D)Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.

Abakkolosaayi 2:6-15

Obulamu obujjuvu mu Kristo

(A)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, (B)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.

(C)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (D)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (E)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (F)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.

13 (G)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (H)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (I)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.