Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
14 (A)“ ‘Ennaku zijja,’ bw’ayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo eky’ekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
9 (A)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (B)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (C)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (D)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Okujja kw’Omwana w’Omuntu
25 (A)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (B)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (C)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (D)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
Eky’okuyiga ku muti omutiini
29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (E)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.
32 (F)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (G)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.
34 (H)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (I)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.