Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
17 (A)Omutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 (B)Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3 (C)“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 (D)Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 (E)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 (F)Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 (G)Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 (H)Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 (I)“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 (J)Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 (K)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (L)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (M)kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 (N)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Ekiwummulo ky’Abaana ba Katonda
7 (A)Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bali bwe baajeema,
ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9 (B)Bajjajjammwe bangezesa,
ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10 Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe,
era tebamanyi makubo gange.
11 (C)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
12 Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 13 (D)Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi. 14 (E)Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero. 15 (F)Kyogerwako nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye
temukakanyaza mitima gyammwe
nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
16 (G)Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 17 (H)Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu? 18 (I)Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? 19 (J)Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.