Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
12 (A)“Naye amagezi gasangibwa wa?
Okutegeera kuva wa?
13 (B)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (C)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (D)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (E)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (F)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
20 (G)“Kale amagezi gava ludda wa?
N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (H)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (I)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (J)kubanga alaba enkomerero y’ensi
era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (K)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
n’apima n’amazzi,
26 (L)bwe yateekera enkuba etteeka
era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (M)N’agamba omuntu nti,
‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”
29 (N)Yobu n’ayongera okwogera nti,
2 (O)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
3 (P)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4 (Q)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5 Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
6 (R)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.
7 (S)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8 abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
abakadde ne basituka ne bayimirira;
9 (T)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
ne bakwata ne ku mimwa;
10 (U)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu
8 (A)Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.
2 (B)Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.
3 (C)Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. 4 (D)Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. 5 (E)Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.