Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
Yobu Ayanukula
26 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (A)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
3 Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
4 Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?
5 (B)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
6 (C)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
7 (D)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
awanika ensi awatali kigiwanirira.
8 (E)Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
9 (F)Abikka obwenyi bw’omwezi,
agwanjululizaako ebire bye.
10 (G)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (H)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (I)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (J)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru
9 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. 10 (B)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti,
“Obulokozi bwa Katonda waffe
atudde ku ntebe ey’obwakabaka
era bwa Mwana gw’Endiga.”
11 (C)Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. 12 (D)Ne bayimba nti,
“Amiina!
Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,
n’okwebazibwa, n’ettendo,
n’obuyinza, n’amaanyi,
bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Amiina!”
13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14 (E)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”
N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (F)Kyebavudde
“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (G)Tebaliddayo kulumwa njala
wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 (H)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.