Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Yobu 7

(A)“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
    Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
(B)Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
    ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
(C)bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
    ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
(D)Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
    Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
(E)Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
    n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.

(F)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
    era zikoma awatali ssuubi.
(G)Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
    amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
(H)Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
    amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
(I)Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
    bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 (J)Taliddayo mu nnyumba ye,
    amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 (K)Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
    nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 (L)Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
    olyoke onkuume?
13 (M)Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
    ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 (N)n’olyoka ontiisa n’ebirooto
    era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 (O)Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
    nfe okusinga okuba omulamu.
16 (P)Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
    Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 (Q)Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
    n’omulowoozaako?
18 (R)Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
    n’omugezesa buli kaseera?
19 (S)Olituusa ddi nga tonvuddeeko
    n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 (T)Nyonoonye;
    kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
    ne neefuukira omugugu?
21 (U)Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
    n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
    era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”

Lukka 16:14-18

Amateeka ga Musa n’Obwakabaka bwa Katonda

14 (A)Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu. 15 (B)N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.

16 (C)“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala. 17 (D)Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.

18 (E)“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.