Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
Amaanyi ga Lukwata
41 (A)“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,
oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
2 (B)Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,
oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
3 Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?
Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
4 (C)Eneekola naawe endagaano
ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
5 Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,
oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
6 Abasuubuzi banaagiramuza,
oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
7 Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,
oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
8 Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,
toliddayo kukikola!
9 Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,
okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 (D)Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.
Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 (E)Ani alina kye yali ampoze musasule?
Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.
Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda
13 (A)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (B)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (C)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.
16 (D)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (E)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 18 (F)Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 19 (G)Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 20 (H)Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.