Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Eseza 8

Kabaka Awa Ekiragiro Obutatta Bayudaaya

(A)Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero n’awa Nnabagereka Eseza ebintu byonna[a] ebya Kamani omulabe w’Abayudaaya. Eseza n’ategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi n’ajjanga mu maaso ga Kabaka. (B)Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.

Awo Eseza n’agenda ewa Kabaka nate ng’amwegayirira ng’agwa ku bigere bye n’okukaaba nga bw’akaaba, ng’amusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, n’enkwe ze yali asalidde Abayudaaya. (C)Kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zaabu, amangu ago Eseza n’agolokoka n’ayimirira mu maaso ga Kabaka.

Eseza n’ayogera nti, “Kabaka bw’anasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era n’awandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka. (D)Nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba obulabe obulijja ku bantu bange, era n’okulaba okuzikirizibwa okw’ennyumba yange?”

Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olw’okuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era n’okuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba. (E)Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”

(F)Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe. 10 Moluddekaayi n’awandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero, ebbaluwa n’azissaako akabonero n’empeta ya Kabaka, n’aziweereza zitwalibwe ababaka abeebagala embalaasi ezidduka ennyo ate nga zaakuzibwa mu bisibo bya Kabaka.

11 (G)Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe. 12 (H)Olunaku olwalondebwa Abayudaaya okukola bino mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero lwe lwali olunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, gwe mwezi Adali. 13 (I)Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era n’okumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.

14 Awo ababaka abeebagala embalaasi za Kabaka, ne bagenda mbiro, ku kiragiro kya Kabaka, era n’ekiragiro ekiwandiikiddwa ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.

Abayudaaya Bawangula Abalabe Baabwe

15 (J)Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo. 16 (K)Ate n’eri Abayudaaya kyali kiseera kya ssanyu, n’okujaguza n’ekitiibwa. 17 (L)Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu n’okujaguza n’embaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olw’entiisa ey’Abayudaaya eyali ebakutte.

Matayo 18:6-9

(A)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

(B)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. (C)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. (D)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.