Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 22:1-2

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

22 (A)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
    n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

(B)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
    Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

Engero 22:8-9

(A)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
    n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

(B)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
    kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

Engero 22:22-23

22 (A)Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
    oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 (B)Kubanga Mukama alibawolereza,
    n’abo ababanyaga alibanyaga.

Zabbuli 125

Oluyimba nga balinnya amadaala.

125 (A)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
    olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
(B)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
    ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
    okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

(C)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
    mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
    okukola ebibi.

(D)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
    bakolere ebirungi.
(E)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
    Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.

Emirembe gibe ku Isirayiri.

Yakobo 2:1-10

Obutabaamu kyekubiira

(A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” (B)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?

(C)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? (D)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?

(E)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (F)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (G)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna.

Yakobo 2:11-13

11 (A)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.

12 (B)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (C)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.

Yakobo 2:14-17

Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi

14 (A)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (B)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (C)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Makko 7:24-37

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

24 (A)Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. 25 (B)Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. 26 Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.

27 Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

28 Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”

29 Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”

30 Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

31 (C)Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli). 32 (D)Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.

33 (E)Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. 34 (F)Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” 35 (G)Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!

36 (H)Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. 37 Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.