Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 128

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(C)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Omubuulizi 5

Mutye Katonda

Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

(A)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
    wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
    okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
    ng’ate ggwe oli ku nsi;
    kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
(B)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
    n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

(C)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. (D)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? (E)Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

(F)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
    wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
    na kino nakyo butaliimu.

11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
    n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
    okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12 (G)Otulo tuwoomera omupakasi
    ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
    tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

13 (H)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14     ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
    tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (I)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
    bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
    wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

16 (J)Na kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
    mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
    ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

18 (K)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (L)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (M)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Yokaana 8:21-38

21 (A)Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”

22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ” 23 (B)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. 24 (C)Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

25 Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”

Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza? 26 (D)Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”

27 Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako. 28 (E)Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza. 29 (F)Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.” 30 (G)Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.

Abaana ba Ibulayimu

31 (H)Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. 32 (I)Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 33 (J)Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”

34 (K)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi. 35 (L)Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. 36 Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe. 37 (M)Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza. 38 (N)Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.