Yokaana 5:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola.
Read full chapter
Yokaana 5:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
Read full chapter
Yokaana 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze.
Read full chapter
Yokaana 14:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.