Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 128

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(C)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Engero 27

Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso

27 (A)Teweenyumirizanga mu bya nkya,
    kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.

(B)Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
    omuntu omulala so si mimwa gyo.

(C)Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
    naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.

(D)Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
    naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?

Okunenya mu lwatu,
    kisinga okwagala okukisibbwa.

(E)Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
    naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.

Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,
    naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.

(F)Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,
    bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.

(G)Ebyakaloosa bisanyusa omutima,
    n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.

10 (H)Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
    olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
    Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

11 (I)Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
    ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.

12 (J)Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
    naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

13 (K)Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,
    era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.

14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,
    obanga amukolimidde.

15 (L)Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,
    ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba
    ng’anyweza omuzigo mu ngalo.

17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
    n’omuntu bw’abangula muntu munne.

18 (M)Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,
    n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.

19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,
    bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.

20 (N)Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,
    n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.

21 (O)Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,
    naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.

22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,
    nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,
    obusirusiru bwe tobumuggyaamu.

23 (P)Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
    ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 (Q)Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
    n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
    nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
    n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
    n’okuliisa abaweereza bo abawala.

Yakobo 4:8-17

(A)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (B)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11 (C)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (D)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Okulabula ku kwekulumbaza

13 (E)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (F)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (G)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (H)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (I)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.