Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 124

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (A)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(B)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(C)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Eseza 2

Eseza Aweebwa obwa Nnabagereka

(A)Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo. Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera. Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga. Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.

(B)Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi, (C)eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi. (D)Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo.

(E)Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka. (F)Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala. 10 (G)Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera. 11 Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.

12 (H)Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira. 13 Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala. 14 (I)Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.

15 (J)Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira. 16 Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe.

17 (K)Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti. 18 (L)Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.

Moluddekaayi Agwa mu Lukwe lw’Okutta Kabaka

19 (M)Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri. 20 (N)Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.

21 (O)Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula. 22 Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza. 23 (P)Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

Ebikolwa by’Abatume 12:20-25

20 (A)Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.

21 Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna. 22 Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” 23 (B)Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.

24 (C)Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.

Balunabba ne Sawulo Baddayo mu Antiyokiya

25 Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.