Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 1

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

Engero 30:18-33

18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,

weewaawo bina bye sitegeera:

19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,

n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,

n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,

n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.

20 (A)Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
    alya n’asiimuula emimwa gye
    n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu

weewaawo bina:

22 (B)omuweereza bw’afuuka kabaka,

n’omusirusiru bw’akutta emmere;

23 n’omukazi eyadibira mu ddya;

n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.

24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,

ebirina amagezi amangi ennyo.

25 (C)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,

naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;

26 (D)obumyu busolo bunafu

naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;

27 (E)enzige tezirina kabaka,

kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;

28 omunya oyinza okugukwasa engalo,

naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.

29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,

weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:

30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;

31 sseggwanga,

n’embuzi ennume,

ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.

32 (F)Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
    obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
    weekomeko weekwate ku mumwa.
33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
    n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
    okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.

Abaruumi 11:25-32

25 (A)Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
    era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 (B)Era eyo ye ndagaano yange nabo,
    bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

28 (C)Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 (D)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (E)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (F)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.