Add parallel Print Page Options

27 (A)Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”

Read full chapter

(A)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

Read full chapter

13 (A)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.

Read full chapter

12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.

Read full chapter

10 (A)Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.

Okulabulwa Obutaba b’Amalala

11 “Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero. 12 (B)Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera; 13 amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala, 14 (C)kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu.

Read full chapter

(A)Bwe nabaliisa, bakkuta;
    bwe bakkuta ne beegulumiza,
    bwe batyo ne banneerabira.

Read full chapter

12 (A)Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera;

Read full chapter