Add parallel Print Page Options

Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a],

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.

19 (A)Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba.

Read full chapter

30 (A)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
    ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
    ne beevulunga mu vvu.
31 (B)Balikumwera emitwe gyabwe,
    era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
    nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.

Read full chapter

(A)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.

(B)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.

Read full chapter

(A)Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana.

Read full chapter

11 (A)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.

Read full chapter