Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 (A)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (B)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (C)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (D)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (E)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
6 (A)Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 (B)Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 (C)bonna balina ebitala,
era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9 Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 (D)Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,
ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.
Omuweereza Omulungi owa Kristo Yesu
6 (A)Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera. 7 (B)Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. 8 (C)Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. 9 (D)Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. 10 Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
11 (E)Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. 12 (F)Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13 Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 14 (G)Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
15 Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16 Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.