Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Essanduuko ya Mukama Ereetebwa mu Yeekaalu
8 (A)Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi.
6 (A)Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.
10 (A)Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, 11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.
Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwaayo Yeekaalu eri Mukama
22 (A)Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, n’ayanjuluza emikono gye eri eggulu, 23 (B)n’ayogera nti,
“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna. 24 Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza n’akamwa ko era okituukirizza n’omukono gwo, nga bwe kiri leero.
25 (C)“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’ 26 (D)Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.
27 (E)“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu ly’eggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu. 28 Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero. 29 (F)Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino. 30 (G)Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.
41 “Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ng’avudde mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo, 42 (A)kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 43 (B)owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
5 (D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 (E)Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 (F)Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Ebyokulwanyisa bya Katonda
10 (A)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (B)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (C)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (D)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (E)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (F)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (G)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (H)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
19 (I)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.
56 (A)Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 57 (B)Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 58 (C)Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59 Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.
Abayigirizwa Abamu Baleka Yesu
60 (D)Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?” 61 (E)Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? 62 (F)Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava? 63 (G)Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu. 64 (H)Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe. 65 (I)Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
66 (J)Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.
67 (K)Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”
68 (L)Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 69 (M)Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.