Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (A)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (C)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (E)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (F)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
Adoniya yeefuula Kabaka
1 Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma, 2 abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.” 3 (A)Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. 4 Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.
5 (B)Awo Adoniya[a] mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge. 6 (C)Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.
7 (D)Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya[b] ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira. 8 (E)Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.
9 (F)Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda, 10 (G)naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.
11 (H)Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 (I)Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 (J)Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’ 14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”
15 (K)Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza. 16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka.
Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”
17 (L)N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’ 18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi. 19 (M)Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe. 21 (N)Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”
22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira. 23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo? 25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 (O)Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise. 27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”
28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.
29 (P)Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; 30 (Q)era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”
Okukwatibwa kwa Suteefano
8 (A)Suteefano, ng’ajjudde ekisa kya Katonda n’amaanyi, n’akolanga ebyamagero bingi n’obubonero mu bantu. 9 (B)Naye abamu ku b’omu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, n’Abakuleene n’Abalegezanderiya, n’Abakirukiya n’Abasiya, ne bawakana ne Suteefano. 10 (C)Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi n’Omwoyo bye yayogeza.
11 (D)Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.
12 (E)Abantu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu. 13 (F)Abajulizi ab’obulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu n’amateeka. 14 (G)Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”
15 (H)Ab’Olukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ng’amasamasa ng’aga malayika!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.