Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 84

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (A)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(B)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(C)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(E)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(F)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

1 Bassekabaka 5:1-12

Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu

(A)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi. Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti,

(B)“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye. (C)Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna. (D)Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’

“Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”

Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”

Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti,

“Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi. (E)Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”

10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala, 11 ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka. 12 (F)Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.

Lukka 11:5-13

Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”

“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ (A)Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.

(B)“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10 Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.

11 “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12 Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13 Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.