Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
naye olijja ddi gye ndi?
Nnaabeeranga mu nnyumba yange
nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 (B)Sijjanga kwereetereza kintu
kyonna ekibi.
Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
sijjanga kubyeteekako.
4 (C)Sijjanga kuba mukuusa;
ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5 (D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
sijja kubigumiikirizanga.
6 (E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
y’anamperezanga.
7 Atayogera mazima
taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
sirimuganya kwongera kubeera nange.
8 (F)Buli nkya nnaazikirizanga
abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
mu kibuga kya Mukama.
Sulemaani Asala Omusango Omuzibu
16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”
Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”
24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
26 (A)Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28 (B)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
6 (A)Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi. 2 Awo ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere. 3 (B)Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ng’abantu b’amagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo. 4 (C)Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, n’okubuulira n’okuyigiriza.”
5 (D)Ebigambo ebyo byonna abaakuŋŋaana ne babisiima. Ne balonda Suteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo eyava mu Antiyokiya, 6 (E)ne babanjula eri abatume. Abatume ne babasabira, ne babasaako emikono.
7 (F)Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna n’omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.