Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (A)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (B)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (C)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (D)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
37 (A)Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38 Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 39 (B)Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
Abusaalomu Akomawo e Yerusaalemi
14 (C)Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 2 (D)Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. 3 (E)Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera.
4 Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” 5 Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. 6 Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. 7 (F)Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”
8 (G)Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” 9 (H)Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”
10 Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”
11 (I)Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”
12 Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”
13 (J)Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 14 (K)Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze.
15 “Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 16 (L)Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’
17 (M)“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”
18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”
19 (N)Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”
Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 (O)Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”
21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”
22 (P)Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”
23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.
Temwesanyusa Mwekka
15 (A)Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka. 2 (B)Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza. 3 (C)Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.” 4 (D)Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5 (E)Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, 6 (F)mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.