Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 45:1-2

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
    nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
    Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

(A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
    n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
    Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

Zabbuli 45:6-9

(A)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
(B)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
(C)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
    Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
    mu mbiri zo ez’amasanga.
(D)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
    namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

Oluyimba 2:1-7

(A)Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,[a]
    eddanga ery’omu biwonvu.

Owoomukwano

Ng’eddanga mu maggwa,
    gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.

Omwagalwa

(B)Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
    aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
    n’ekibala kye kimpomera.
(C)Yantwala ku kijjulo,
    n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
(D)Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
    mumbuddeebudde n’emicungwa
    kubanga okwagala kunzirisizza.
(E)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
(F)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
    ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kweyagalidde.

Yakobo 1:9-16

Obwavu n’obugagga

Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 10 (A)N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 11 (B)Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.

12 (C)Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

13 Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 (D)Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

16 (E)Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.