Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (A)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (B)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (C)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (D)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (E)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (F)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (G)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
15 (A)Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi. 16 (B)N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya. 17 Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana. 18 (C)Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa n’ebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.
19 (D)N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama. 20 (E)Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[a]. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose[b], era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule. 21 Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu. 22 Munda wa yeekaalu mwonna, n’assaamu zaabu, ne ku kyoto eky’omu kisenge awaayimirirwanga okwogera[c] n’asiigako zaabu.
23 (F)Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu. 24 Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri. 25 Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu. 26 Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya n’ekitundu. 27 (G)N’ateeka bakerubi mu kisenge eky’omunda ddala mu yeekaalu, ng’ebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, n’ekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu. 28 Bakerubi n’abasiigako zaabu.
29 (H)Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge eby’omunda, ne mu bisenge eby’ebweru, n’akola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse. 30 Ne wansi mu bisenge eby’omunda n’eby’ebweru ebya yeekaalu n’assaamu zaabu.
31 Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano. 32 Ku nzigi zombi ez’emiti egy’emizeeyituuni n’akubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse, bakerubi n’enkindu n’abisiiga zaabu. 33 Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya. 34 N’akola n’enzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango. 35 Ku zo n’ayolako ebifaananyi ebya bakerubi, n’enkindu n’ebimuli ebyanjulukuse, n’abisiiga zaabu ensanuuse.
36 (I)N’azimba oluggya olw’omunda n’embu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu olw’emiti egy’emivule.
37 Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa. 38 (J)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli[d], gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.
16 (A)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (B)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 (C)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (D)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (E)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (F)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (G)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (H)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (I)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.