Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
8 (A)Wuliriza omwagalwa wange,
Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
ng’azinira ku busozi.
9 (B)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
“Golokoka, Owoomukwano,
omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
kuwulirwa mu nsi.
13 (C)Omutiini[a] gubala ettiini zaagwo,
n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
omulungi wange ojje tugende.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.
45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2 (A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
6 (A)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7 (B)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8 (C)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
mu mbiri zo ez’amasanga.
9 (D)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
17 (A)Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 18 (B)Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.
Okuwuliriza n’okukola
19 (C)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 (D)Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.
22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 (E)Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.
26 (F)Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 (G)Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.
Obulombolombo bw’Abayudaaya
7 Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu. 2 (A)Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo. 3 (B)Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali. 4 (C)Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
5 (D)Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
6 Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti,
“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,
naye emitima gyabwe tegindiiko.
7 (E)Okusinza kwabwe tekuliimu nsa;
kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
8 (F)Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”
Ebyonoona Omuntu
14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.
21 Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, 22 (A)n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. 23 Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.