Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (A)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (B)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (C)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (D)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 (A)Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.
27 (B)Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.
28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 (C)Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.
31 (D)Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 (E)Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”
33 (F)Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.
6 (A)Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2 (B)Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. 3 (C)Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. 4 Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. 5 Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. 6 (D)Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.
7 (E)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. 8 (F)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. 9 (G)Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 10 (H)Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.