Add parallel Print Page Options

(A)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.

Read full chapter

(A)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,

“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
    ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
    ayi ggwe Kabaka w’amawanga.

Read full chapter