Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 27

Yosamu Kabaka wa Yuda

27 (A)Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki. Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama. (B)N’addaabiriza Omulyango ogw’Ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era n’akola omulimu munene ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Oferi. N’azimba n’ebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira n’azimbamu ebigo n’asimbamu n’eminaala.

(C)Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.

(D)Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.

Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we n’amusikira.

Isaaya 9-12

Omulokozi Atuzaaliddwa

(A)Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.

(B)Abantu abaatambuliranga mu kizikiza
    balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
    omusana gubaakidde.
Oyazizza eggwanga,
    obongedde essanyu,
basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,
    ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.[a]
(C)Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,
    omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,
n’ekiti eky’oku kibegabega kye,
    n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
(D)Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
    na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
    bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
(E)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
    omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
    n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
    Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
    Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
(F)Okufuga kwe n’emirembe
    biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
    n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
    okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    bulikituukiriza ekyo.

Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri

Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,[b]
    ku birituuka ku Isirayiri.
(G)Era abantu bonna balibumanya,
    Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya
aboogera n’amalala
    n’omutima omukakanyavu,
10 nti, “Amatoffaali gagudde wansi
    naye tulizimbya amayinja amateme,
emisukamooli gitemeddwawo
    naye tulizzaawo emivule.”
11 (H)Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
    alibakumaakuma bamulumbe.
12 (I)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
    balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.

Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
    era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

13 (J)Kubanga abantu tebakyuse kudda
    wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 (K)Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,
    ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 (L)Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
    n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 (M)Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
    n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 (N)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
    wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
    era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.

Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

18 (O)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
    gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
    omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (P)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
    tewali muntu alekawo muganda we.
20 (Q)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
    naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
    naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21     (R)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (S)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
    n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
(T)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
    era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
    n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
(U)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
    ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
    Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
(V)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
    oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli

(W)“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
    era omuggo gw’ekiruyi kyange.
(X)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
(Y)Naye kino si kye kigendererwa kye,
    kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
    okumalirawo ddala amawanga mangi.
(Z)‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
    (AA)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
    ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 (AB)Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
    abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
    si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”

12 (AC)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (AD)Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
    era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
    Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
    ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (AE)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
    omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
    bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
    newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

15 (AF)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
    Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
    oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (AG)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
    ogwokya ng’oluyiira.
17 (AH)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
    n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
    amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (AI)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
    n’ennimiro ze, engimu,
    ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (AJ)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
    nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (AK)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[c]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (AL)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (AM)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
    abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
    kubanga kusaanidde.
23 (AN)Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
    enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.

24 (AO)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
    temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
    era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (AP)Kubanga mu kaseera katono nnyo
    obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

26 (AQ)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
    nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
    nga bwe yakola e Misiri.
27 (AR)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
    n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
    olw’obugevvu bwo.

28 (AS)Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
    liyise mu Migulooni,
    era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 (AT)Bayise awavvuunukirwa, e Geba
    ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
    Gibea wa Sawulo adduse.
30 (AU)Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
    Ggwe Layisa wuliriza!
    Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
    abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 (AV)Olwa leero bajja kusibira Nobu,
    balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
    akasozi ka Yerusaalemi.

33 (AW)Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
    n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
    Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.

Ettabi Eririva ku Yese

11 (AX)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
    ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
(AY)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
(AZ)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
    oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
(BA)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
(BB)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
    n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

(BC)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
    n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
    era omwana omuto yalizirabirira.
Ente n’eddubu biririira wamu,
    abaana baazo banaagalamiranga wamu.
    Empologoma erirya omuddo ng’ente.
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
    n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
(BD)Tewalibeera kukolaganako bulabe
    wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
    ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

10 (BE)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. 11 (BF)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[d] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

12 (BG)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
13 (BH)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
14 (BI)Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
    era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
    n’abaana ba Amoni balibagondera.
15 (BJ)Era Mukama Katonda alikaliza
    omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;
era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati
    ne guleetawo omuyaga ogukaza,
agwawulemu ebitundu musanvu
    abantu bye banaasomokanga ku bigere.
16 (BK)Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga
    eryasigala ku Bwasuli
nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku
    lwe baaviirako mu Misiri.

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

12 (BL)Ku lunaku olwo oligamba nti,
    “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
    obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
(BM)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(BN)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

(BO)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
    mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
    mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
(BP)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
    muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
(BQ)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.